Revelation of John 21:19-20

19 aEmisingi gya bbugwe w’ekibuga nga giyooyooteddwa n’amayinja ag’omuwendo omungi ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa n’amayinja aga yasepi, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kalukedoni, ogwokuna aga nnawandagala, 20 bogwokutaano aga sadonukisi, ogw’omukaaga sadiyo, ogw’omusanvu aga kerusoliso, ogw’omunaana aga berulo, ogw’omwenda aga topazi, ogw’ekkumi aga kerusoperaso, ogw’ekkumi n’ogumu aga kuwakinso, n’ogw’ekkumi n’ebiri aga amesusito.
Copyright information for LugEEEE